Job 39

1 a“Omanyi ebiro embuzi z’oku nsozi mwe zizaalira?
Oba oyinza okumanya empeewo we ziwakira?
2Oyinza okubala emyezi gye zimala zizaale?
Omanyi obudde mwe zizaalira?
3Zikutama ne zizaala abaana baazo,
ne ziwona obulumi bw’okuzaala.
4Abaana baazo bakula ne bagejjera ku ttale,
batambula ne bagenda obutadda.

5 b“Ani eyaleka entulege okwetambulira mu ddembe lyayo?
Ani eyasumulula emiguwa gyayo,
6 cgye nawa ensi ey’omuddo okuba amaka gaayo,
n’ensi ey’omunnyo okubeerangamu?
7 dEsekerera oluyoogaano lw’ekibuga,
tewuliriza kulekaana kw’abavuzi ba bidduka.
8Ebuna ensozi, ly’eddundiro lyayo,
ng’enoonya ekintu kyonna ekibisi.

9 e“Embogo eyinza okukkiriza okuba omuweereza wo,
n’esula ekiro mu kisibo kyo?
10Oyinza okugisiba ku muguwa n’ogirimisa olubimbi?
Eyinza okukuvaako emabega ng’erima mu kiwonvu.
11Oyinza okugyesiga olw’amaanyi gaayo amangi?
Oyinza okugirekera emirimu gyo egy’amaanyi?
12Oyinza okugyesiga okukuleetera emmere yo ey’empeke,
oba okukuleetera eŋŋaano mu gguuliro lyo?

13“Ebiwaawaatiro bya maaya bisanyusa nga byewujja,
naye ebiwaawaatiro n’ebyoya bya kalooli tebiraga kisa.
14Kubanga emaaya ebiika amagi gaayo ku ttaka,
n’egaleka ne gabugumira mu musenyu,
15ne yeerabira nti, ekigere kisobola okugaasa,
era nga ensolo ey’omu nsiko eyinza okugalinnya.
16 fObwana bwayo ebuyisa bubi ng’obutali bwayo
gy’obeera nti, yazaalira bwereere.
17 gKubanga Katonda teyagiwa magezi
wadde okutegeera.
18Ate bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo edduke
esoomooza embalaasi n’omugoba waayo.

19“Embalaasi ggwe ogiwa amaanyi,
oba ggwe oyambaza ensingo yaayo obwoya obwewumba?
20 hGgwe ogisobozesa okubuuka ng’enzige
n’ekanga n’okukaaba kwayo okw’entiisa?
21 iEtakula ettaka mu kiwonvu, nga yeeyagala olw’amaanyi gaayo,
n’eryoka efuluma okusisinkana abalwanyi abakutte ebyokulwanyisa.
22Esekerera okutya, n’eteba na kigitiisa.
Ekitala tekigitiisa kugizza mabega.
23Omufuko ogujjudde obusaale gwesuukundira ku lubuto lwayo,
awamu n’effumu erimasamasa, n’akasaale.
24 jMu busungu obungi emira ettaka,
tesobola kusigala mu kifo kimu ng’ekkondeere livuze.
25 kEkkondeere bwe livuga n’egamba nti, ‘Awo!’
N’ewunyiriza olutalo olukyali ewala,
n’ewulira n’okuleekaana kwa baduumizi b’amaggye.

26“Amagezi go ge gabuusa kamunye,
n’ayanjuluza ebiwaawaatiro bye e bukiikaddyo?
27 lGgwe olagira empungu okubuukira ewala mu bbanga,
era n’ezimba n’ekisu kyayo waggulu ennyo?
28Ku lwazi kw’ezimba amaka gaayo ekiro n’esula okwo,
ku lwazi olunywevu olutabetentebwa.
29 mEyo gy’ekettera omuyiggo gw’eneerya,
eriiso lyayo ligulengerera wala.
30 nObwana bwayo bunywa omusaayi,
era awali emirambo w’ebeera.”
Copyright information for LugEEEE